Amawulire

Abakulembeze e Bunyoro bavudeyo ku by’okusiba Kabuleta

Abakulembeze e Bunyoro bavudeyo ku by’okusiba Kabuleta

Ivan Ssenabulya

December 8th, 2022

No comments

Bya Mike Sebalu, 

Ekitundu ky’abakulembeze, abakadde n’abantu b’e Bunyoro bavumiridde eky’okuwamba, okukwata n’okusibibwa mu ngeri emenya amateeka senkagale w’ekibiina kye byobufuzi ekya National Economic Empowerment Dialogue, Joseph Kabuleta.

Kabuleta yakwatibwa okuva mu ofiisi z’ekibiina kye e Bugolobi mu Kampala ku Mmande nga 28th era yatwalibwa mu Kkooti y’e Nakawa ne musindika mu kkomera e Luzira okutuusa nga 14 December 2022.

Kino kyaddiridde Kabuleta okugaana okussa ekitiibwa mu kuyitibwa kwa Poliisi Nga November 4, 2022, okubuuzibwa ebibuuzo ku bigambo byeyayogera gavt byerumiriza nti bitumbula obusosoze mu mawanga.

Omukwanaganya w’ekibiina kya Alliance for National Transfomration (ANT) e Bunyoro era omulwanirizi weddembe, Jackson Wabyona, ayogeddeko ne bannamawulire e Hoima