Amawulire

Abakulembeze be Katuna bagala enteseganya ziddemu okuggulawo ensalo

Abakulembeze be Katuna bagala enteseganya ziddemu okuggulawo ensalo

Ivan Ssenabulya

September 30th, 2021

No comments

Bya Musasi Waffe

Ab’obuyinza ku nsalo ya Uganda ne Rwanda e Katuna basabye omukulembeze Yoweri K. Museveni okuttukizza okuggulawo ensalo.

Gavumenti ya Rwanda yaggalwo enslo yaayo ne Uganda mu March wa 2019 nga baategeeza nga bwebalina entekateeka okudabiriza ensalo yaabwe.

Wabula gavumenti ya Uganda nabao balumiriza Rwanda, okusindika kuno abakessi nekigendererwa okutabangula ebyokwerinda byabwe.

Mu bbanga lino wabaddewo okugotaana mu mirimu gyebyobusubuzi wakati wamwanga gombi, nga nembiranye egebaddenga ekula bukuzi.

Kati tawuni kilaaka wa Katuna tawuni kanso Eric Sunday ategezezza banaffe aba Daily Monitor nti bafiriddwa omusolo gwa kawumbi kalamba 1 okuva ensalo ya Katuna/Gatuna lweyaggalwa.

Agambye nti baasolozanga omuslo gwa bukadde 400 buli mwaka naye ssente ezo zaasalika.

Kati nabakulembeze abalala mu kitundu kino bagamba nti obwetaavu webuli okuggulawo ensalo era basabye nti enteseganya ziddemu.