Amawulire

Abakulembeze ba Mawanga bavumiridde amaggye okuwamba Gavt e Sudan

Abakulembeze ba Mawanga bavumiridde amaggye okuwamba Gavt e Sudan

Ivan Ssenabulya

October 25th, 2021

No comments

Bya musasi waffe,

Abakulembeze ba mawanga bavumiridde ekya maggye okuwamba gavt mu ggwanga erya sudan.

Kino kidiridde amaggye okuwamba gavt eyalondebwa omuntu wa bulijjo ne bakwata nabakulembeze be byobufuzi, balangiridde nakasera akakatyabaga.

Omukago omwegatira amawanga agali ku semazinga Africa ogwa African Union gulaze obwenyamivu olwebigenda mu maaso mu sudan era gusabye wabeewo okuteseganya wakati wa maggye nábantu ba bulijjo.

America nayo evudeyo kunsonga eno nelaga okutya nti okuwamba gavt kuno kwakuza emabega entekateeka eyokulwanirira enfuga eya democracia bannansi gye beetaaga.