Amawulire

Abakulembeze ba basiraamu basabye palamenti ku bbago lyóbusika

Abakulembeze ba basiraamu basabye palamenti ku bbago lyóbusika

Ivan Ssenabulya

November 3rd, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abakulembeze ba bayisiraamu okuva mu kakiiko aka Uganda Muslim supreme council basabye akakiiko ka palamenti akavunanyizibwa ku byamateeka akali mu kwetegereza ebbago lye tteeka erikwata ku ngabana yebyobusika erya succession amendment bill 2021, okuvaayo ne tteeka eritakontana nanzikkiriza yabwe.

Bano nga bakulembedwamu amyuka mufti owókubiri sheikh Mohamed Ali Waiswa okwogera bino babadde balabiseko mu maaso ga kakiiko kano okuwa endooza yabwe ku bbago lino

Ono agambye nti ebbago lino tewa kitiibwa mateeka ga busiraamu nga bwegalambikidwa mu kitabo ekitukuvu ekya Kulaani agakwata ku ngabana ye byobusika.

Waiswa asabye gavt eyise ebbago lye tteeka eya Administration of Muslim Personal Law nga lino lilambika eri abafumbo abasowaganye okudukira mu kkooti zobusiraamu okufuna okulungamizibwa

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *