Amawulire

Abakugu mu byóbulamu e Mityana batiddemu

Abakugu mu byóbulamu e Mityana batiddemu

Ivan Ssenabulya

August 31st, 2022

No comments

Bya Barbara Nalweyiso,

Abakugu era abavunanyizibwa mu kulwanyisa ekilwadde ki Covid-19 mu district ye Mityana balina okutya olw’abantu abasuula edda omuguluka ensonga ezikwata kukwegemesa n’okwetangira ekilwadde ki covid -19 ekintu ekiyinza okuviilamu ekilwadde kino okuddamu okwegiriisiza mu banna Mityana.

E Mityana ebibalo bilaga nti abantu ebituundu 74% bebakegemesa doozi esooka ate abalala ebituuntu 36% nebafuna doozi ey’okubili.

Embeera bweti ewalizisizza abatwala eby’obulamu okusingira ddala abavunanyizibwa kukulwanyisa ekilwadde ki covid-19 okusisinkana abakulembeze kumitendera egy’enjawulo omuli bannadiini ,abasomesa n’abakulembeze babagoba bodabooda mu ma gomboloola agakola district ye mityana okulaba nga basala empenda ez’okuttukiza okubunyisa enjiri n’okwagazisa abantu okw’egemesa ekilwadde ki covid-19.