Amawulire

Abakubye bannamawulire bavunaniddwa

Abakubye bannamawulire bavunaniddwa

Ivan Ssenabulya

February 18th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwoga

Ekitongole ekikwasisa amateeka mu Military Police, mu kooti eya wansi baliko abajaasi bebasingiszza emisango nebaweebwa nebibonerezo okukola obusibe wakti we nnaku 60 ku 90.

Okusinziira ku mayuka omwogezi wamagye ge gwanga Lt. Col Deo Akiiki, kooti eno etude ngekubirizibwa Lt Col Gai Mpandwa nga bavunaniddwa emisango gyokweyisa mungeri etagwanidde.

Abavunaniddwa era nejibasinga kuliko Capt Jessy Odwenyi bamusibye ennaku 90 mu nkambi e Makindye, Corporal Zirimenya Kassim bamusibye ennaku 60 ne Cpl Justine Nimusiima ngekibonerzo ekimuwereddwa bamulabudde.

Ssentebbe wa kooti eno Lt Col Mpandwa alabudde abajaasi bonna, mu military poliisi bakendeeze obukambwe, naye bolese empisa nga bkol emirmu gyabwe.

Bano kigambibwa nti bebakubye banamawulire e Kololo olunnaku lwe ggulo okumpi ne wofiisi yekibiina kyamawanga amagatte  ekola ku ddembe lyobuntu.

Robert Kyagulanyi akulembera NUP, yabadde agenze kuloopa kunsonga yekiwamba abantu naddala abwagizi be abali mu 240, abazze babuzibwawo.