Amawulire
Abakozi mu matendekero ga gavumenti b’akuteeka wansi ebikola
Bya Damlie Mukhaye
Abakozi abatali basomesa mu matendekero ga gavumenti aga waggulu balabudde okuteeka wansi ebikola okutandika nga 19th March 2021 nga babanja gavumenti enyongereza ku misaala gyabwe.
Okusinziira ku bbaluwa eyawandikiddwa nga 11 March eri minisita webyenjigiriza nemoizannyo Janet Museveni, ssentebbe wekibiina ekigatta abakozi bano, Jackson Betihamah agambye nti mbalirira ya 2020/21 tebabogenza nga gavumenti bweyali yeyama okukibakoleranga buli mwaka gwabyansimbi.
Bano babanaja obuwmbi 91 nobukadde 300, songa nemu mbalirirra etanabaeera yankomeredde eya 2021/22 ssente tezinalabwako.
Betihamah agambye nti bakoze kyonna ekisoboka, okujukiza gavumenti, naye entekateeka tevuddeemu kalungi.
Bano kati bagenda kwegatta ku bakozi banaabwe abasomesa, abatandika akadiimo kaabwe nga 6 Feb nga nabo babanja obuwmbi 129.