Amawulire

Abakozi basabiddwa okuvaayo ku bukuumi bwabwe

Abakozi basabiddwa okuvaayo ku bukuumi bwabwe

Ivan Ssenabulya

April 27th, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Abakozi basabiddwa okufaayo ku butebenkevu bwabwe, nga bali ku mirimu.

Okusaba kuno kukoleddwa Aggrey Kibenge, omuwandiisi owenkalakkalira mu minisitule yabakozi nekikula kyabantu bwabadde ayogera ne bannamawulire ku lunnaku lwobutebenkevu eri abakozi ku mirimu oba World Day for Safety and Health at work.

Olunnaku luno lugenda kuvugira ku mubala u lunyanyimbe, “Act Together to Build a positive safety and health culture” ngaomukolo gugenda kubeera mu kibangirizi kyamakolero e Lugogo mu Kampala.

Okusinziira ku kibiina kyabakozi ku mutendera gwensi yonna, ekya International Labour Organisation, abantu abagoba mu bukadde 3 bebafiira mu bubenja obutukawo ku mirimu buli mwaka ngabantu abalala obukadde 400 bebalumizibwa.