Amawulire

Abakozesa Yintaneti beyongedde

Abakozesa Yintaneti beyongedde

Ivan Ssenabulya

February 1st, 2022

No comments

Bya Christine Nakyeyune

Alipoota ekwata ku butale nenkozesa ya Yintaneti, okuva mu kakiiko akebyempulizganya aka Uganda Communication Commission, eraze nti abakozesa ssekayunzi oba yintaneti baweze akakadde 1 nemitwalo 90 omwaka oguwedd wegwagwereddeko.

Omwezi gwa Sebutemba 2021, wegwagwerako, alipoota eraga nti abakozesa yintaneti nga beyongedde 10%.

Kino kibadde tekibangawo, era kyavaako okweyongera kwemukutu gya yintaneti okubuna mu bantu 52%.

Kino kitegeeza nti omuntu 1 ku buli bantu 2 mu Uganda balina yintaneti kwebakolera emirimu n’okubaako byebasoma.

Nebyuma ebiyungiddwa ku yintaneti byeyongera, nebiwera emitwalo 58 n’okusoba.