Amawulire

Abakozesa emikutu gya Yintanenti basabiddwa

Abakozesa emikutu gya Yintanenti basabiddwa

Ivan Ssenabulya

November 5th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abakozesa emikutu egyomutimbagano basabiddwa okugyeyambisa okutumbula ebyobulamuzi bya wano mu kifo kyokusasanyizako amawulire agobulimba agagoba abalambuzi.

Bwabadde asimbula Miss Uganda Bagaya Elizabeth agenda okukikirira Uganda mu mpaka za bannalulungi munsi yonna ezigenda okubeera mu Puerto Rico (USA), Nampala wa Gavumenti mu palamenti, Thomas Tayebwa, agambye nti emikutu gyamawulire gikola kinene okutumbula ebyobulambuzi naye bwegikozesebwa obubi eggwanga lifiirwa obutitimbe bwensimbi.

Awadde ekyokulabika kya boomu ezaakubwa mu ggwanga ne batemu be bijjambiya mu bwagagavu bwe Masaka nti singa bino biwandikibwa mu ngeri etali yabwegendereza kitegeeza abalambuzi basobola okutya okujja kuno nga balowooza nti eggwnaga teririmu butebenkevu.

Mungeri yemu Tayebwa awadde amagezi ebitongole ebiri mu mirimu gyebyobulambuzi wano mu ggwanga okukendereza ku bannansi ebisaale basobole okwetanira okulambula ebintuebyenjawulo ebiri mu bitundu bye ggwanga ebyenjawulo.