Amawulire

Abakosebwa mu bulumbaganyi bwa Boomu Gavt egenda kubaliyirira

Abakosebwa mu bulumbaganyi bwa Boomu Gavt egenda kubaliyirira

Ivan Ssenabulya

November 18th, 2021

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Ssabaminisita Robinah Nabbanja akawungeezi ka leero ayogeddeko eri ababaka ba palamenti ku mbeera ye byokwerinda eri mu ggwanga.

Kino kidiridde boomu ezakubiddwa abantu mu kibuga wakati abantu 7 ne bafa abasoba mu 30 ne balumizibwa.

Nabbanja akakasiza nti gavt yakumala amaanyi abatujju bano era bannauganda tebalina kuba na kutya.

Ono asabye bannauganda okufaayo eri obulamu bwabwe nga baloopa okwekengera kwebaba bafunye eri abo buyinza

Era assuubiziza nga gavt bwegenda okuliyirira abeganda za bantu abafiiriddwako ababwe na bakosebwa.

Nabbanja mungeri yemu ategezeza nga gavt bwegenda okuvaayo nobukwakulizo okutangira ebikolwa ebyobutujju.

Ate ye amyuka sipiika Anita Among asabye ababaka okuteeka ebbali ebyobufuzi mu mbeera yokulwanyisa ebikolwa byobutujju.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *