Amawulire

abákakiiko bafulumiza ennambika mu kudamu okulonda basentebe

abákakiiko bafulumiza ennambika mu kudamu okulonda basentebe

Ivan Ssenabulya

October 6th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Akakiiko ke byokulonda kafulumiza ebinagobererwa mu kudamu okulonda ba sentebe be bitundu nabantu abekinzo.

Mu kiwandiiko kyafulumiza akawungeezi ka leero ssentebe wa kakiiko ke byokulonda Simon Byabakama agambye nti entekateeka yakusooka nakwetegereza nkalala za balonzi nga 22-26th October ate okusunsula abesimbyewo kutandika nga 29th- 30th November 2021.

Kampeyini zakukubwa okuva nga 2nd -14th December ate okulonda kubeewo nga 15th and 16th December 2021

Munnaku ezo mwebagenda nokujjuliza ekifo kya sentebe wa disitulikiti ye Kayunga.

Byabakama asabye b’ekikwatako mu bifo okulonda gyekugenda okuba okukwenyigiramu.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *