Amawulire

Abakade bakoze ekibiina mu Buganda

Abakade bakoze ekibiina mu Buganda

Ivan Ssenabulya

September 23rd, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Abakadde mu kitundu kya Buganda begase mu nkola ya “Aggali awamu, mu ntekateeka mwebagenda okuyita okuyambagana.

Bano bagamba basanga okusomozebwa okwamaanyi, wabulanga tewali akwata munne ku mukono.

Kati bawandisiza ekibiina kyebatumye “SEMRICK FOUNDATION” nga kigenda kutuula mu disitulikiti zonna ezikola ekitundu kya Buganda.

Omuyima waabwe Rev. Dr. Kefa Sempangi atubuyliidde nga bwebagenda okutongoza ekibiina kino nga Ssabaminisita wegwanga Robinah Nabbanja yasubirwa okujitongoza ku Lwokutaano luno.

Ebimu ku bibaruma, bagamba nti tebayambiddwa kimala okuva mu gavumenti, nga bagala okwongera amaanyi mu ddoboozi lyabwe liwulirwe.