Amawulire

Abakadde bakyali batono abagemeddwa

Abakadde bakyali batono abagemeddwa

Ivan Ssenabulya

October 14th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Minisitule yebyobulamu, tegezezza nga bwegenda okutandika okutondawo ebifo omugemerwa senyiga omukambwe, ebyangu eri bantu abakadde.

Ebibalo biraga nti abakadde, atenga bebaasinga okulubirirra mu ntekateeka yokugema 1.7% abali mu myaka 50 bokka bebakageebwa doozi okugwayo.

Minisita webyobulamu Dr Ruth Aceng agambye nti baazudde nga wabaddewo okweyongera nokuyayaana mu bavubuka okugemebwa, atenga abakadde tebajumbidde.

Kati ku basomesa emitwalo 50 bebalubirirra okugema, 19.4% bokka bebakagemebwa doozi okugwayo.

Bbo abasawo 34% nabakuuma ddembe 19% bebagemeddwa.

Ssentebbe owolukiiko lwabanasayansi, olwa Covid Scientific Advisory Committee, oluwabula gavumenti mu kulwanyisa ssenyiga omukambwe Dr Misaki Wayengera omuwendo gwabantu abatono abakagemebwa, akitadde ku kasoobo engeri entekateeka yonna bwekwatiddwamu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *