Amawulire

Abakadde Bagala obudde bwa Kafyu bujibwewo e Masaka

Abakadde Bagala obudde bwa Kafyu bujibwewo e Masaka

Ivan Ssenabulya

September 3rd, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Abakadde mu gwanga, nga begattira mu kibiina National Council for Older Persons (NCOP) basabvye gavumenti okujjawo obudde bwa kafyu e Masaka, okusobola okuleka abantu okwerwanako ssinga baba barumbiddwa abebijambiya.

Okusinziira ku poliisi abantu 28 bebakattibwa, mu disitulikiti ezikola ekitundu ekigazi ekye Masaka.

Ku bano, 18 bava mu disitulikiti ye Lwengo abalala mu disitulikiti ye Masaka, Bukomansimbi, Lyantonde, Kyotera ne Sembabule.

Omukwanaganya wemirimu gyekibiina kyabakadde mu Buganda nga ye Joseph Lubega agambye nti nokweggalira mu mayumba ku ssaawa 1 kyabulabe, kubanga abantu babeera tebaosboka kufuluma nokwetaasa.

Omukulembeze wegwanga Yoweri K Museveni, ku lunaku Lwokubiri yakakasizza abantu nti abali emabage aowbutemuy buno bakubalinnya ku nfeete, ssinga abamu ku bakwate banatwalibwa mu kooti.