Amawulire

Abakadde bagala kugemebwa COVID-19

Abakadde bagala kugemebwa COVID-19

Ivan Ssenabulya

March 21st, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Abakadde mu Kampala wansi w’ekibiina ekibagatta ki The Aged Family Uganda (TAFU) baagala gavumenti okukola kyonna ekisoboka, bagemebwe ekiwadde kya ssenyiga namutta.

Kiddiridde gavumenti okulangilira nti abakdde ku myaka 70 okudda waggulu bebagenda okusooka okugema, olwobutono bwe ddagala.

Sentebe waabwe Francis Anthony Lubowa, era awadde gavumenti amagezi efunire buli mukadde ekipalati ekimusobozesa okufuna obujjanjabi ku bwerere mu malwaliro gaayo okusobola okubeera mu bulamu obulungi.

Ono yabadde ku mukolo kwebatongolezza app abakadde kwebanayita okufuna obudukirize nga tebavudde mu maka gaabwe, gyebatuumye have care app.