Amawulire

Abajaasi ba Uganda 2 balumiziddwa

Ali Mivule

October 7th, 2014

No comments

UPDF chopper

Abajaasi ba  UPDF 2 beebalumiziddwa mu kikwekweto ekyakoleddwa mu Somalia nga amaggye gano gawamba ekibuga kya Barawe okuva eri abakambwe ba Al shabab olunaku olw’eggulo.

Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire olunaku olwaleero, omwogezi wa poliisi mu ggwanga  Lt Col Paddy Ankunda ategegezezza nga bano bwebagenda okuddizibwa okwaboobwe essaawa yonna bajanjabibwe.

Agamba nti okuwambibwa kw’ekibuga kino kitegeeza nti ebitundu byonna ebiri mu mikono gya UPDF tebiriimu ba Al Shabab.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *