Amawulire

Abagisu 6 Bakwatiddwa Nga Bekalakaasa Olwebigambo bya Minisita

Ivan Ssenabulya

May 20th, 2017

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Police eriko abantu 6 Abamasaba nga bano babadde mu kibinja nga bakaalakaala mungeri yokwekalakaasa olwebigambo bya Minister webyobuwangwa Peace Mutuuzo eyavumirira Emablu jjolyabalamu.

Abakwate kuliko Twaha Kriss Namakola, Jeff Bogere Mukhwana, Jastus Masaba, Daisy Nagudi, Clet Masiga nomulala ategerekese nga Liz nga bakwatiddwa nga bolkere Namboole.

Mu kiseera kino bakumibwa ku poliisi ya Jinja Road.

Bibo byonna byadiridde ebigambo bya minister Mutuuzo bweyali ayogerera mu lukungaana lwabannamawulire ku Media Center eyategeeza nti Emablu nkola yabyabuwangwa etakyagwanidde.

Kati Abamasaba abawangaliira wano mu Kampala mu bibiina okuli Elgon Thinkers Forum, Bamasaba students association, Bamasaba Kampala chapter, basimbudde okuva ku ttendekero lya MUBS awo e Nakawa nga bazina Akadodi wabula poliisi nebatangira obuteyongerayo e Banda.

Bgamba bigambo bya minister kwabadde kubavvoola era alina okwetonda abimenyewo.