Amawulire

Abagambibwa okuba abatujju baddiziddwaayo e Luzira

Ali Mivule

October 7th, 2014

No comments

Terror suspects again

Abavunaanibwa ogw’obutujju 10 basindikiddwa ku alimanda e Luzira.

Bano balabiseeko maaso g’omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road  Simon Kintu abasindise mu mere okutuusa nga 23 October.

Kino kiddiridde oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Edward Muhumuza okutegeeza kkooti nga okunonyereza ku musango gw’abano bwekukyagenda maaso ku kitebe kya poliisi ekinonyereza ku misango e Kireka.

9 ku bano basomali nga kuliko abakyaala 2 ne munnakenya omu.

Bano bavunanibwa kyamba batujju ba Al-Shabab abaagala okutabangula emirembe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *