Amawulire

Abafiirwa ababwe mu kaloti ya Kibwetere bagala kuliyirirwa

Abafiirwa ababwe mu kaloti ya Kibwetere bagala kuliyirirwa

Ivan Ssenabulya

March 17th, 2021

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Gavumenti ejjukiziddwa okulowooza ku kyokuliyirira abaana abafiirwako bazadde babwe abali mu kiddiiniddiini kya Kibwetere.

Leero wegiweze emyaka 21 bukya bagoberezi ba Joseph Kibwetere abasoba mu 700 bwebabengeya mu nnambambula womuliro oluvanyuma lwokubasibiramu nabakolezako omuliro nga abagambye nti lye kubbo elibatuusa mu ggulu amangu.

Bwabadde ayogerako eri ababaka ba palamenti akawungezi ka leero omubaka omukyala owa Kanungu district, Elizabeth Karungi yenyamidde olwa gavt obutafaayo kutuusa bwenkanya ku bantu be Kanungu naddala abaana abafiirwako abantu babwe mu kiddiini kya kibwetere

Sipiika Rebecca Kadaga alagidde ssabaminisita okuleeta alipoota ku nsonga eno wiiki ejja awatali kulemererwa.