Amawulire

Abafiiridde mu kabenje batuuse ku 35

Ali Mivule

September 29th, 2014

No comments

Bakulu coach in accident

Omuwendo gw’abatugiddwa akabenje akagudde okumpi n’ekibuga Juba gutuuse ku 35

Okusinziira ku ssentebe wa bannayuganda ababeera mu South Sudan, Nsubuga Mubiru , abasinga ku bano bafiiridde mu ddwaliro lye Juba olw’ebbula ly’omusaayi.

Abakoseddwa abalala abasoba mu 40 bakyajjanjabibwa

Mu bakoseddwa akabenje kano kubaddeko bannayuganda, bannakenya ne bannansi ba South Sudan.

Akabenje kano keetabiddwaamu baasi ya Bakulu etomeraganye ne ki tuleera ku kyaalo Nistu.

Tuleera eno ebadde eva South Sudan okudda e kampala .

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *