Amawulire

Abadde yeyita owa siteet’awusi bamukutte

Abadde yeyita owa siteet’awusi bamukutte

Ivan Ssenabulya

August 22nd, 2019

No comments

Bya Prosy Kisakye

Flying squad eriko omusajja gwekutte nga ye Hamid Segawa ku misango gyokutisatiisa abantu, okufuna ssente mu lukujju kujju nokweyita kyatali.

Omumyuka owmogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano Luke Owoyesigire agambye nti omusajja ono baamukwatidde ku Nkuruma road, ngabaddenga yeyita omukuuma ddembe, okuva mu maka gobwa presidenti.

Agambye nti baamusanze ne ID enjingirire era okunonyereza kugeda mu maaso, oluvanyuma wakusimbibw amu mbuga zamateeka.