Amawulire

Abadde y’akava mu kkomera abbye nebamutta

Abadde y’akava mu kkomera abbye nebamutta

Ivan Ssenabulya

August 8th, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Poliisi mu distict ye Buikwe etandise okunonyereza ku butemu obwakoleddwa ku musajja ateberezebwa okubeera omubbi wente ow’olulango.

Kigambibwa nti Okello David omutuuze ku kyalo Kisimba mu gombolola ye Najja yalumbiddwa abantu nebatanula okumukuba, bwebamusanze ne TV enzibe.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Sezibwa Hellen Butoto akaksizza bino, nategeeza nti omugenzi abadde yakajja ayimbulwe okuva mu kkomera ate naddamu okubba.

Agambye nti babadde baakamuyimbula okuva mu kkomera e Buikwe gyebamusiba emyaka 3 olwokubba ente.