Amawulire

Abadde amyuka ssabapoliisi Maj Gen Paul Oketch afudde

Abadde amyuka ssabapoliisi Maj Gen Paul Oketch afudde

Ivan Ssenabulya

August 21st, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Abadde amyuka ssabapoliisi Maj Gen Paul Oketch afudde.

Amawulire gókufakwe gakakasiddwa ssabaddumizi wa poliisi mu ggwanga Martin Okoth Ochola nategeza nti ono afiiridde mu makage enkya ya leero.

Maj Gen Lokech yalondebwa omukulembeze wéggwanga Yoweri Kaguta Museveni okudda mu bigere bya Mzee Sabiiti mu mwezi ogwa Ntevu omwaka oguwedde.

Mu kwogerako ne Dembe FM avunanyizibwa kunsonga zébyobufuzi mu poliisi ya Uganda, Asan Kasingye, okufa kwomugenzi agambye nti ddibu ddene nyo eri eggwanga ne mu kitongole kya Poliisi.

Lokech awererezako mu bitongole bye njawulo nga yaliko omuddumizi we ggye erilwanyisa abakambwe ba alshabab mu Somalia erya AMISOM, wakati 2011 ne 2012 ne 2017 okutuuka.

Maj. Gen Lokech era yaliko omuddumizi wa Uganda Rapid Development Capability Centre e Jinja, okuva 2018 okutuuka 2019, gyeyava nalondebwa okukulira eggye lye ggwanga eryomubbanga mu July 2019, okutuusa 11 December 2019.