Amawulire

Abadde akukusa abaana afiridde mu kkubo nga bamutwala mu ddwaliro

Abadde akukusa abaana afiridde mu kkubo nga bamutwala mu ddwaliro

Ivan Ssenabulya

September 20th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Omusajja agambibwa nti abadde kungwa mu kukusa abantu, afiridde mu kkubo bwebabadde bamutwala mu ddwaliro lya Matany hospital mu disitulikiti ye Napak.

Omugenzi ye John Lomilo abadde aweza emyaka 59, ngabadde mutuuze ku kyalo Alekilek mu gombolola ye Iriiri e Napak.

Ono baamukutte nabaana 8 abali mu mu myaka wakati wa 6 ne 15.

Poliisi egamba nti yatemezeddwako abantu babulijjo, ku musajja ono agambibwa nti abaddenga akukusa abaana okubatwala e Busia nabamu okubayingiza munda mu kibuga Nairobi e Kenya, nebatandika okukola lejjalejja

Wabula bweyabadde mu mikono gya poliisi kyategezeddwa nti mulwadde, era nebagezaako okumutwala mu ddwaliro okufuna obujanjabi obwamangu.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Mt Moroto, nga ye Mike Longole akaksizza okuka kwe, wabula agambye nti balinze alipoota zabasawo zezinabakakasa kiki ekimuviriddeko okufa.