Amawulire

Abadde adduka abasirikale atomedde naafa

Abadde adduka abasirikale atomedde naafa

Ivan Ssenabulya

March 6th, 2021

No comments

Bya Sadat Mbogo,

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Jalamba mu town council ey’e Buwama mu district y’e Mpigi, omuvubuka abadde adduka abaserikale abakola ebikwekweto bya curfew ku pikipikiye mu kiro ekikeesezza olwaleero bw’atomedde entuumo ye ttaka n’afiirawo.

Ettaka eryogerwako lyayiiriddwa mu kkubo eriva e Mitalamaria okudda mu katown k’e Jalamba olunaku olwajjo okusobola okuziba ebimu ku binnya ebirulimu.

Omugenzi ye Joseph Masengere, 35 omutuuze w’e Jalamba nga okutomera entuumo y’ettaka, abadde adduka abaserikale ekiro ku ssaawa ssatu nga tayagala kukwatibwa kuba abadde avugira pikipiki eno ebweru w’amateeka agateekebwawo gavumenti okutangira okusaasaana kw’ekirwadde ki Covid-19.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *