Amawulire
Ababbi babasuuzizza emmotoka
Bya Abubaker Kirunda
poliisi e Luuka eriko mmotoka kika kya Mark 11, gyesuzizza ababbi.
ababbi bano nti babbye mmotoka eno okuva ku Fred Kadebo bwebamutadde ku mudumu gwe mmundu ku luguudo oluva e Luuk okudda e Iganga, mu gombolola ye Nawampiti.
Wabula poliisi ngekulembeddwamu DPC we Luuka Mukkono Mwine bajisudde ku kyalo Walibo mu gombolola ye Waibuga, nebatekakao kakokola tondeka nnyuma.
Kati poliisi egamba nti omuyiggo gugenda mu maaso okubazuula.