Amawulire

Ababba obupande bw’okunguudo beraliikirizza polisi
Bya Ndaye Moses.
Police eraze obwenyamivu olw’abantu ebesibiridde ku kyokubba obupande bw’okunguudo, ekivirideko obubenje okweyongera.
Bwabadde eyogerako ne banamawulire, amyuka aduumira police ye gwanga ekola ku biduka Baziru Mugisa agambye nti newankubadde abantu bangi bazze bayambako police mu kusimba obupande buno, kyoka bwebasaawo bwebutwalibwa abantu abatunda scrap.
Ono okwogera bino abadde akwasibwa obuyambibwa bwa bukadde 98 okuva mu UAP insurance company– nga buno bwakulwanyisa bubenja bwokungudo.