Amawulire

Ababanja okujjamu embuto beyongedde

Ababanja okujjamu embuto beyongedde

Ivan Ssenabulya

October 3rd, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Ebitongole byobwanakyewa byongedde okubanja nti okuyita mu mateeka, okujjamu embuto kutongozebwe ate kikolebwanga mu butuuu ssi mu kimpunkumpuku.

Okujjamu embuto, kumenya amateeka mu Uganda wabula kikyagenda mu maaso nokukolebwa mu bubba, oluusi nekivaamu ebirwadde.

Emu Uganda, ebibalo biraga nti abakazi emitwalo 29 mu 7,000 bebajjamu embuto buli mwaka wabulanga emitwalo 8 mu 5,000 babuuka n’ebirwade ate emitwalo 6 mu 5,000 bokka befuna obujanjabi obutuufu.

Kati Kavuma Ronald nga yakulira emirimu ku Tusitukirewamu Group, agambye ni oluusi waberewo obwetaavu okujjamu olubuto nga kisaanye okulowozebwako.