Amawulire

Ababaka ssi bakuweebwa nsako yakutambula

Ababaka ssi bakuweebwa nsako yakutambula

Ivan Ssenabulya

March 3rd, 2022

No comments

Bya Ndhaye Moses

Amyuka omukubiriza wa palamenti Anita Among alangiridde nti okutandika nomwaka gwebyensimbi ogujja 2022/23 ababaka tbagenda kusasulwanga nsako oba allowance ezokutambula munda mu gwanga ne wabweru.

Bweyabadde akubiriza olutuula lwa palamenti akawungeezi akayise Among yategezezza, nga kino bwekyavudde mu minisitule yebyensimbi, nga bamuwadde ebbaluwa enyonyola ku kusalawo kwa gavumenti kuno.

Wabula agambye nti ssi musanyufu nengeri minisitule yebyensimbi gyeyingiramu emirmu gya palamenti, kubanga palamenti ngekitongole ekyetengeredde bebasaanye okulambika enkozesa ya ssente ezibalambikirwa mu mbalirira.

Wabula atadde minisita omubeezi owebyensimbi Henry Musasizi ku nninga, anyonyole babaka banne lwaki babayingira.