Amawulire

Ababaka mu Rwenzori bawabudde ku Myoga

Ababaka mu Rwenzori bawabudde ku Myoga

Ivan Ssenabulya

September 3rd, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Ababaka ba palamenti bawabudde nti ekitongole kya Microfinance Support Centre kibangewo entekateeka endala, enarondoola nokulungaya obulungi Emyooga.

Ababaka era baawabudde nti ebibiina byobwegassi ebikola obulungi babyongere ssente, abakozi ba gavumenti okuli ba CDO basasulwe bulungi songa bagamba nti era waliwo obwetaavu okwongeranga okusomesa abantu buli kadde.

Bino byajidde mu alipoota, ababaka okuva mu kitundu kya Rwenzori gyebayanjulidde palamenti mu kunonyereza kwebabaddeko.

Ababaka ababadde bakulembeddwamu Alex Ruhanda era bagala ekitongole kya Microfinance Support Centre kinonyerezebweko olwa vuylugu eyetobeka mu nytekateeka eno okuli abakozi ba gavumenti obutasasaulwa nsako zaabwe kati emyezi 7 nebirala.

Ebirala, ababaka bagambye nti obudde ssente zino kwezajira bwali bukyamu era abasinga balowooza nti kaali kasiimo okuva mu gavumenti ngegwanga ligenda mu kulonda kwa 2021.