Amawulire

Ababaka mu Buganda beyamye okuwagira gavumenti okulwanyisa obutemu

Ababaka mu Buganda beyamye okuwagira gavumenti okulwanyisa obutemu

Ivan Ssenabulya

September 1st, 2021

No comments

Bya Arthur Wadero

Ababaka ba palamenti abatuula ku kabondo ka Buganda beyamye okuwagira abebyokwerinda, mu lutalo lwokulwanyisa obutemu obuli mu bitundu bye Masaka.

Mu kiwandiiko ekyawamu kyebasomye eri bannamawulire amakya ga leero, bagambye nti bagenda kubanja nnyo gavumenti eyongere ku bakuuma ddembe mu kitundu kino okusobola okuzza embeera mu nteeko.

Mu kafubo kebabaddemu okumala essawa 2, bakanyizza era betabe mu kulwaniririra eddembe lyabasibe abakwatiddwa, abagambibwa nti bebali emabega webijambiya.

Bino webijidde ngamyuka sipiika wa palamenti Anita Among yalagidde ababaka nabakulembeze e Masaka, okuwagira gavumenti mu ntekateeka zokulwanyisa obutemu.