Amawulire

Ababaka ku kakiiko ka COSASE bagenda kulambuka ekisaawe ky’Entebbe

Ababaka ku kakiiko ka COSASE bagenda kulambuka ekisaawe ky’Entebbe

Ivan Ssenabulya

October 8th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko ka COSASE, akalondola emirimu mu bitongole bya gavumenti basubirwa olwaleero, okutuuka ku kisawe kyennyonyi Entebbe okulaba emirimu gykudabiriza nokugaziya ekisaawe bwegitambula.

Kino kyadiridde abakungu okuva mu kitongole kya Uganda Civil Aviation Authority (UCAA) okulabikako mu kakiiko, wabula baalemereddwa okunyonyola ku nkozesa ya ssente obuwumbi 6, ezaali ezemirimu gyokudabiriza ekisaawe.

Ababaka ku kakiiko kano, akakubirizibwa omubaka wa Nakawa West Joel Ssenyonyi batadde abakungu ku nninga okunyonyola lwaki mu kusooka baawa kampuni ya Arch Designs okukuba pulaani ku bukadde 613 ate oluvanyuma nebaleeta Ssetongo and Partners nebakyusa design.

Abakungu balemereddwa okunyonyola ebimatiza eri ababaka.