Amawulire
Ababaka b’enyamivu ku bannauganda abattibwa mu South Sudan
Bya Benjamin Jumbe,
Omubaka omukyala mu disitulikiti ye Koboko Margaret Babadiri alaze obwenyamivu olwa bannauganda abattibwa mu ggwanga erya South Sudan.
Ono okwogera bino kidiridde bannauganda badereva be bimotoka ebinene 11 okuttibwa ku luguudo oluva e Juba-Yei munnaku 2 eziyise.
Bwabadde ayanja ensongaye eri palamenti akawungeezi ka leero, Babadiri anyonyodde nti badereeva 4 battibwa ku Sunday, ate omusanvu lunaku lwajjo
Asabye minisita owensonga ezomunda muggwanga aveeyo kunsonga eno
Mu kumwanukula minisita Obiga Kania agambye nti minisitule eyensonga ezebweru weggwanga kino ekimanyiko era kigobererwa