Amawulire

Ababaka bé Kasese bemulugunyiza

Ababaka bé Kasese bemulugunyiza

Ivan Ssenabulya

August 23rd, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Ababaka ba NRM abava mu bitundu bye kasese basabye wabeewo okwanguyiriza mu kuwulira emisango gyabo abagambibwa okuba nti benyigira mu butabanguko obwali e Kasese mu 2016 Kasese.

Kinajukirwa nti mu mwezi gwa musenene omwaka gwa 2016 amaggye ga gavt galumba olubiri lwomusinga wé Rwenzururu ekyaleetawo obutabanguko obwava abantu abawera okufiirwa obulamu nokukwatibwa kwomusinga Charles Wesley Mumbere, katikirowe nábakuumi bólubiri.

Mu kwogerako ne bannamawulire ku palamenti ababaka okuli owe Kasese Municipality Ferigo Kambale owa Busongora North Sowedi Kitanywa bategezeza nti ekyokulwawo okufundikira okuwulira emisango gwa basibe tekikomye kukukosa enkulakulana ye kitundu wabula nokulinyirira eddembe lyabwe.

Bano Bagala bobukwakulizo obwatebwa ku kweyimirirwa kwomusinga Omusinga ne banne bugibwewo

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *