Amawulire

Ababaka bavudeyo kubyókwetika Kaada zóbugeme bwékirwadde kya Covid

Ababaka bavudeyo kubyókwetika Kaada zóbugeme bwékirwadde kya Covid

Ivan Ssenabulya

November 1st, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abamu ku babaka ba palamenti basabye olukiiko lweggwanga olukulu okuvaayo nolukalala lwa babaka abageme okuva eri ekirwadde kya Covid-19 mu kifo kyokubasaba kaada zobugeme

Kino kidiridde amyuka sipiiaka Anita Among okusaba ababaka okugendanga ne kaada zabwe eziraga nti bagemebwa ekirwadde era abatazirina bandiganibwa okuyingira palamenti.

Wabula omubaka wa Kajara county Michael Kamugisha, ayagala palamenti okweyambisa data mu byuma bikali magezi okumanya abageme na batali kuba waliwo abagaana mu bugenderevu.

Mungeri yemu omubaka wa Kimaanya-Kabonera County Dr Abed Bwanika, asabye minisitule eye byobulamu okukwatagana ne palamenti okuvaayo ne nkola eya digito mwe basobola okwawulira ababaka abagemedwa mu kifo kyokubalagira okutambula ne kaada zabwe buli lunaku nga ziyinza okubagwako oba nokuzerabira eka ate ne bagaanibwa okuyingira palamenti.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *