Amawulire

Ababaka balumirizza Kasaija okulemesa ebbago lya NSSF

Ababaka balumirizza Kasaija okulemesa ebbago lya NSSF

Ivan Ssenabulya

March 25th, 2021

No comments

Bya Elizabeth Kamurungi

Abamu ku babaka ba palamenti balumirizza minisita webyensimbo Matia Kasiaja, okuwabya omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni olwokuwabula kweyakoze, ngamusaba obutateeka mukono ku bbago erye nnongosereza mu tteeka lyekitavvu kyabakozi, erye NSSF Amendment Bill.

Amawulire gawandiise nti Kasaija yawandikira omukulembeze we gwanga namuwabula, obutateeka mukono ku bbago lino eryayisi bwa palamenti gyebuvuddeko.

Kati obuwayiro obuliko kaluma nywera ye nnyingo 24(a) ekiriza okujjayo ekitundu ku ssenteomukozi zatereka 20% ssinga abeera aweza emyaka 45 atenga aterese emyaka egiwera 10.

Akakwayiro kano katekebwa mu bbago lino mu May 2020 abakozi bwebaali bakoseddwa ennyo ssenyig omukambwe, amaloboozi negeyongera agasaba nti batandike okuweebwa ku ssente zaabwe.

Kati ababaka bategeeza nti olwembeera enzibu abakozi gyebayitamu waliwo obwetaavu okutandika okuweebwa ku ssente zaabwe.

Kasaija kigambibwa nti yategezezza pulezidenti Museveni nti ssente ezo teziriimu mu kitavvu mu mpeke, ng akijja kwetagisa NSSF okutunda ku byobugagga byayo byebabadenga batekamu ssente okufuna obwesedde 2 nobuwumbi 900 okusobola okuwa abakozi emitwalo 32 ekitundu ku ssente zaabwe.

Wabula omubaka wabakozi Dr. Sam Lyomoki, agambye nti nabo bawandikidde mukulembeze w egwanga nga bawakanya okuwabula kwa Kasaija.