Amawulire

Ababaka balemesezza DFCU okutunda ettaka lya gavumenti

Ababaka balemesezza DFCU okutunda ettaka lya gavumenti

Ivan Ssenabulya

October 14th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Akakiiko ka palamenti akavunayizibwa ku kuzimba, kaasimbye nebalemesa DFCU Bank okutunda ettaka lya gavumenti mu kitundu kye Tororo.

Ettaka eryogerwako gavumenti yali, yalikwasa aba Kasoli Community okuzimbako amayumba, agomulembeze eri abantu.

Mu mwaka gwa 2010, okukaanya kwatukibwako wakati waba Kasoli Community e Tororo, gavumenti ya Uganda, UN Habitant, DFCU Bank nobukulembeze bwa munisipaali ye Tororo okutandika ku polojekiti yamayumba okujja abantu mu migotteko.

DFCU yawola gavumenti nebitongole ebiralala, ebyali mu polojekiti eno, obuwumbi 2 nobukadde 600 wabula ssente ezabalema okusasula.

Chris Serunkuuma, avunayizbwa ku byamabanja nobugagga bwa Banka yategezezza ababaka ku kakiiko kabaddi kakubirizibwa omubaka we Kigolobya, David Karubanga nti ssente zino zaalina okusasulwa mu myaka 15 wabulabasazaamu endagaano mu myaka 6 nga balemereddwa okusasaula.

Wabula ababaka, bazikubyemu makikakiika okwaka, nebawkanya ekyokutunda ettaka lino

Omubaka wa Bukoto Central e Masaka, Richard Ssebamala yoomu ku batuula ku kakiiko kano.