Amawulire

Ababaka bakase Kaihura okulayira

Ali Mivule

December 3rd, 2013

No comments

mps bitter

Ssenkagale wa poliisi  Gen Kale Kaihura bumukalidde ku mimwa bwakakiddwa okukuba ekilayiro maaso g’akakiiko ka palamenti akakola ku Dembe ly’obuntu oluvanyuma lwokwegana ebya poliisi okutulugunya munamateka wa Loodi Meeya Abdullah Kiwanuka.

Ababaka abatuula ku kakiiko kano nga bakulembeddwamu ssentebe w’akakiiko kano Jovah Kamateeka basazeewo Kayihura alayire nga bagamba nti abadde atandise okubalimba.

Ababaka tebasoose kuwera nga kibadde kiremesezza olutuula luno okugenda maaso wabula oluvanyuma lugenze maaso oluvanyuma lwokubala ababaka ababaddewo omu kwomu.

Kaihura ali maaso g’akakiiko ka palamenti anyonyole ku bigambibwa nti poliisi etulugunya  abantu naddala nga egumbulula ababa bakubye enkungaana.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *