Amawulire

Ababaka bagala ensimbi mu kutebenkeza obukuumi ku makubo zongerweko

Ababaka bagala ensimbi mu kutebenkeza obukuumi ku makubo zongerweko

Ivan Ssenabulya

May 5th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Ssentebbe ow’omukago gwa palamenti kubyenguudo nekozesa yaazo, omubaka Alex Ruhunda alaze obwetaavu okwongera ku mbalirira ye ssente ezitekebwa mu byobutebenkevu ku nguudo, okukendeeza ku muwendo gwabantu abafiira mu bubenje.

Ono abadde ayogerako naffe ku kabenje aketabiddwamu Bus ya Link e Fort-portal akafiriddemu abantu amakumi 20 nabalala abawerako nebalumizibwa.

Ruhunda agambye nti obubenje nga buno bukosa ebyenfuna byegwanga, ngasabye watekebwewo ekitongole ekyekebejje ebidduka byonna mu gwanga.