Amawulire

Ababaka ba NUP baakujibwako akakadde 1 ku ssente z’emmotoka

Ababaka ba NUP baakujibwako akakadde 1 ku ssente z’emmotoka

Ivan Ssenabulya

July 23rd, 2021

No comments

Bya Arthur Wadero

Abekibiina kya National Unity Platform abavuganya gavumnti bategezezza nga buli mubaka bwaabw ebwebagenda okumusalako akakadde 1 ku ssente zokugula emmotoka obukadde 200 ezabawereddwa.

Bagambye nti ssente zino zigenda kukozezebwa okuddukanya emirimu gyekibiina, ngebimu ku biri mu ntekateeka kwekuzimba wifiisi zekibiina.

Bwabadde awayaamu ne banaffe aba Daily Monitor, nampala woludda oluvuganya gavumenti John Baptist Nambeshe agambye nti kino ababaka ba NUP bebakikanyizaako kyeyagalire awatabadde kukakibwa.

Agambye nti abakulu aba waggulu mu kibiina, okuli akikulembera Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine tebakibaddemu na mukono.

Agambye nti olwokuba kya kyegalaire waliwo nabasobola okuwaayo ezisukka akakadde 1 okudda waggulu.