Amawulire

Ababaka ba Buganda bawanda muliro ku ssabanyala

Ali Mivule

September 5th, 2014

No comments

m7 at kimeze

Gavumenti erabuddwa okwewalira ddala okutongoza abakulembeze b’ennono abataatongozebwa  mu ssemateeka.

Bweyabadde ku mukolo gw’amatikira ga  Ssabanyala Maj Baker Kimeze ag’omulundi ogw’omukaaga e Kayunga olunaku olw’eggulo,pulezidenti Museveni yatongozza obukulembeze bw’abanyala n’abaluuli bano nga bano  kitundu ku Buganda.

Pulezidenti yategezezza nga bweyatuuka ku nzikiriganya ne Buganda kubanga y’akkiriza okubeerawo kwa Buluuli n’abanyala.

Kati amyuuka ssentebe w’akabondo k’ababaka ba Buganda  Betty Nambooze agamba abakulembeze mu lukiiko lwa Buganda tebatuulangako kutongoza bukulembeze bw’abanyala na baluuli nga bwekiri mu tteeka ly’abakulembeze b’ennono erya 2011.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *