Amawulire

Ababaka abava mu Busoga balabudwa kunjawukana

Ababaka abava mu Busoga balabudwa kunjawukana

Ivan Ssenabulya

September 8th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ababaka ba palamenti okuva mu bitundu bye Busoga balabuddwa kunjawukana bwe kiba nti ekitundu kyabwe kyakutuuka ku nkulakulana.

Bino byogeddwa eyaliko omukubiriza wa palamenti era ssentebe wa kabondo ka babaka abava mu Busoga, Rebecca Kadaga bwabadde awaayo yafeesi ya Ssentebe eri munne amudidde mu bigere Steven Kisa mu Kampala.

Ate Ssentebe omugya, Kisa oluvanyuma lwokukwasibw ayafeesi naye asabye babaka banne okwewala ebyobufuzi ebyokusiiga ekko naye bakolerere obumu.

Ono yeyamye okwogerezeganya ne gavt okudamu okugula Busoga University eyaggalwa emyaka 4 egiyise ku bigambibwa nti yali egaba ebiwandiiko ebye biccupuli.

Mu ngeri Kisa asuubiza okugoberera ekisuubizo kya Museveni okugulawo ekkolero lya sukaali e Busoga