Amawulire

Abaana ababba ab’Entebbe bali mu myaka 10

Abaana ababba ab’Entebbe bali mu myaka 10

Ivan Ssenabulya

September 11th, 2019

No comments

Bya Prosy Kisakye

Abatuuze mu kibuga kye Entebbe bakubidde abakulembeze baabwe omulanga, okubataasa ku baana mu kitundu kino abefudde ekirala okubabba.

Abatuuze bagamba nti abaana abababba bali wakati w’emyaka 10 ne 12 nga babba mu budde obwekiro nkawungezi.

Sentebe wa division B Stanley Namayirira agambye nti abazadde bebasindika abaana baabwe mu bubbi kubanga poliisi bwebakwata banaguwa okubajjayo.