Amawulire

Abaana ababundabunda okuva mu South Sudan bakoonye akakadde

Ali Mivule

June 20th, 2017

No comments

Bya Ali Mivule

Nga Uganda yegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lw’ababundabunda, abaana abasoba mu kakadde akalamba bebaakadduka mu ggwanga lya South Sudan bukyanga kulwanagana kubalukawo mu December  2013.

Akulira ekitongole ky’abaana eky’ekitongole ky’amawanga amagatte ekya UNICEF mu buvanjuba n’obugwanjuba bwa Africa  Leila Pakkala agamba abaana banji bakyeyiwa mu Uganda n’amawanga agaliranyewo wabula nga bakabakyaza nabo bakalubiriddwa.

Pakkala agamba kati Uganda y’esingamu ababundabunda mu Africa nga mu nsi yonna ekwata kyakusatu oluvanyuma lwa Turkey ne Pakistan

Pakkala agamba yadde nga abaana ababundabunda bakozesa amalwaliro, amassomero n’ebirala ebyabanansi, ebyokukolebwako bikyali bingi okulaba ngatebasosolebwa n’okufuba okulaba nga abaana bali wamu n’abomumaka gaabwe abalala.

Bino webijidde nga Uganda yetegeka okutegekla olusirika lw’ababundabunda olw’ensi yonna olwa  International Solidarity Summit on Refugees okuva nga  June 22nd  okutuusa nga  23rd

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *