Amawulire

Abaana abaafuna embuto mu muggalo batotodde ennaku

Abaana abaafuna embuto mu muggalo batotodde ennaku

Ivan Ssenabulya

October 8th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Abaana abobuwala, abamu ku baafuna embuto n’okuzalira mu mu muggalo, batottode embeera gyebalimu.

Bangi bagamba nti bagwa mu butego bwabasajja nebabafunyisa embuto, naye abasajja ababzalamu babasulawo tebabawa buyambi.

Bano bakunganidde ku gombolola ye Nagojje, gyebazze okufuna obuyambi okuva mu kitongole ky’eby’enjigiriiza ku ssaaza e Kyaggwe.

Omukungu wa ssabasajja atwala eby’enjigiriza ku ssaaza e Kyaggwe Steven Katabalwa agambye nti bavudeyo ng’essaaza okuyamba ku baana bano, oluvanyuma lwokuzuula okusomozebwa kwebayitamu.

Kati asabye abaana abali ewakka okuguminkiriza bakadde baabwe ate n’abazadde batukirize obuvunanyizibwa bwabwe eri abaana.