Amawulire
Abaana 5 basobezeddwako nebafuna mukenenya
Bya Abubaker Kirunda
Abawala 5 bebakakasiddwa nti balwadde ba mukenenya, oluvanyuma lwkubasobyako mu kibuga Jinja.
Bino bijidde mu alipoota yakulira ensonga zamaka oba Probation officer e Jinja, Allan Ndaala.
Ndaala wabula agambye nti gino gyemisango gyokka egyatuuka mu wofiisi yaabwe, mu biseera byomuggalo gwa ssenyiga omukambwe.
Abawala bano tebanetuuka, nga bali wakati wemyaka 8 ne 17.
Mu lukiiko olwategekeddwa aba National Children authority, akulira ekitongole kino Martin Kizza agambye nti abaana bano basobezebwako abasajja abakulu.
Emisango egimu basobola okujirondoola okuvunana ababsobyako, nokuyamba abaana abalwadde.