Amawulire
Abaana 15 babakutte nga batayaaya
Bya Magembe Sabiiti
Abatwala eby’okwerinda mu munispaali ye Mubende bakoze ekikwekweeto ku baana abatayayiza ku nguudo, mwebakwatidde abaana 15 abagambibwa okwenyigira bikolwa ebimenya amateeka .
EKikwekweeto kino kikulembedwamu atwala eby’okwerinda mu kibuga Nkangi Mathias ngabaana bano bali wakati w’emyaka 7 ne 15 nga ‘kigambibw anti babadde tebakyasoma, banoonya byuma ebikadde.
Abamu bategezezza nga bwebaduka maka gabazadde baabwe oluvanyuma lw’okubatulugunya.