Amawulire

Aba Uganda Road Fund bafulumiza obuwumbi 73.1 zidabirize enguudo

Aba Uganda Road Fund bafulumiza obuwumbi 73.1 zidabirize enguudo

Ivan Ssenabulya

August 17th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekitongole kya Uganda Road Fund kifulumiza obuwumbi bwensimbi za Uganda 73.1 okudabiriza enguudo mu kitundu ekisooka mu mwaka gwe byensimbi 2021/22.

Ku zino Obuwumbi bwensimbi 47 zakugenda mu kitongole kya Uganda National Roads Authority, obuwumbi 3.92 zigende mu kitongole kya Kampala Capital City Authority ate obuwumbi 17.22bn zigende mu gavt ezebitundu

Okusinzira ku senkulu wa Uganda Road Fund Dr. Eng. Andrew Naimanye agambye nti ensimbi zino zakuyambako ebitongole ebyo mu kudabiriza enguudo wakati womwezi ogwa July, August ne September.

Shakira Rahim omwogezi wekitongole kino atangaziza kunsonga eno