Amawulire

Aba UBA bagala gavt ekwatireko amasomero góbwannanyini

Aba UBA bagala gavt ekwatireko amasomero góbwannanyini

Ivan Ssenabulya

October 20th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina kya Uganda Bankers Association kyagala gavumenti etekewo ensawo ya bukadde bwa America 300 eyambeko amasomero góbwannanyini wakati nga gategeka okuggulawo omwaka ogujja.

Bino byogeddwa senkulu wékibiina kino, Wilbrod Owor bwabadde alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akavunanyizibwa ku byenjigiriza okusobola okuwa endowoozaye ku kiteeso kya babaka ba palamenti abagala gavt okuddukirira abamasomero góbwannayini kuba bakosebwa kinene bukya masomero gaggalwa olwe kirwadde kya covid-19

Ono agambye nti abamasomero beetaaga okudukirirwa nóbuyambi bwe nsimbi nga amasomero teganaggulawo ensimbi zino zasizasule mpolampola mu myaka 8-15.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *